Return to Index

381

382

OBUDDE buzibye;Yesu

383
SongInstrumental
	

1 OBUDDE buzibye;Yesu Njijja ne mu maaso go, Mu kizikiza n'ekisa, Kuuma nze omuddu wo, Mwana gw'endiga,gw'osinga Okubeera omulungi; Ggwe wansasiira;nnali nga Naatera kufa bufi. 2 Twatula n'ebibi bingi; Bitukwasa n'ensonyi; Naye n'ekisa kyo kingi Tetutya kujja gy'oli. Mwana gw'endiga,gw'osinga Okubeera omulungi; Ggwe wansasiira;nnali nga Naatera kufa bufi. 3 Buli kye tukoze olabye, Buli kye tukwonoonye; Bwe tukyalaba,tusaba, Yesu,otusonyiwe. Mwana gw'endiga,gw'osinga Okubeera omulungi; Ggwe wansasiira;nnali nga Naatera kufa bufi.