Return to Index

382

383

WAALIWO edda omuwala:yalagulwa bannabbi

384
SongInstrumental
	

1 WAALIWO edda omuwala:yalagulwa bannabbi Okuzaala-omulokozi nga olwa leero, Atulokole mu bibi era ne mu kufa Adamu-bye yatusuulamu-mu kusooka kw'ensi Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze, Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero. 2 Mu Beserekemu e Buyudaaya, Malyamu yagenda awamu ne Yusufu N'abantu-abalala bangi okwewandiisa Nga bwe baalagirwa Kayisaali Agusito. Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze, Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero. 3 Naye bwe baatuka mu kibuga omwo Ne basanga nga kijjudde abantu bangi; Malyamu ne Yusufu baali baavu nnyo Ne batafuna bulungi kifo eky'okusulamu; Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze, Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero. 4 Ne bamala gasula mu kisibo ky'ente Ne beebeka mu nju omwo-ensolo nga mwe ziri Naye tebanyooma wabi watyo; Bw'atyo Omulokozi bwe yazaalibwa Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze, Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero. 5 Abasumba Katonda yabatumira Nga balunda ebisibo ku ttale-ekiro, Malayika n'agamba nti,Musanyuke nnyo Kubanga Omulokozi azaaliddwa leero. Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze, Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero. 6 Amangu ago abasumba ne balaba mu bbanga Okwolesebwa kwa bamalayika, Bayimba n'essanyu,ntiEkitiibwa kibe Eri Katonda waggulu,Emirembe mu bantu: Ka tusanyuke nnyo nnyini ka tujaguze, Yesu Omulokozi yazaalwa nga leero.