Return to Index

383

384

Sikukulu eyasoka yajira abasumba abalunda

385
SongInstrumental
	

1 Sikukulu eyasoka yajira abasumba abalunda, Ekisibo kyabwe ekyendinga,Malayika naja ekiro nagamba: Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero. 2 Batunula nebalaba Emunyenye eyaka mubuvanjuba, Emunyenye ku nsi ekitibwa kingi,Era nomusana nga gwaka mungi: Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero. 3 Bwebala emunyenye eyo,Abagegezi nebava wala nyo, Emunyenye kugigoberera,Kabaka oyo okumusinza: Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero. 4 Emuyenye eyasembera Ebeserekemu neimirira, Era oluvo kweyaberera, Mukifo Yesu weyazazikibwa: Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero. 5 Nebaingira abasatu abo,Nebamutonera ebirabo byabye, Zabu nobubane nomugavu,Nga bavunama nobuwombefu: Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero. 6 Kale nafe tumusinze,Tumutendereze Mukama wafe Eyakola egulu nensi,Eyanunula abantu nomusai Sikukulu,Sikukulu Kabaka azalidwa lero.