Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 OMWANA gw'endiga,
Gwe-eyatufiirira,
Twesigenga okufa kwo okw'omuwendo;
-Omulokozi waffe,
Ne mu mibiriizi zo,
-Enfumite mwe muli-obuddukiro waffe.
2 Omwana gw'endiga
Mu musaayi gwo-omwo,
Mwe tuteekera ddala-emitima gyaffe,
-Otutukuzenga
Tube balongoofu,
Mu nsi-efuukafuuka-otuwanirirenga.
3 Omwana gw'endiga
Ggwe eyatufiirira
Wazuukira n'oddira mu kitiibwa kyo
Ggwe mmere-ey'obulamu
-Otuliisenga fenna,
Obeerenga mu ffe,naffe tube mu ggwe.
4 Omwana gw'endiga
Ggwe-osaanide wekka,
Ku Nnamulondo ya Katonda Kitaffe
Okuva-edda n'edda,
Wabeeranga bumu
N'Omwoyo Omutukuvu bwe Busatu.