Return to Index

387

388

ENSI zonna ziyimbe

389
SongInstrumental
	

1 ENSI zonna ziyimbe Okumanyisa Obukama bwa Yesu, N'obulungi bwe Buli bantu bayimbe Ennyimba-ez'ettendo lye. 2 Ensi zonna ziyimbe, Mu buvanjuba, Mwe muviira bulijjo Enjuba yaffe, Amatendo ga Yesu Gabune mu nsi zonna. 3 Ensi zonna ziyimbe, Mu nsalo zaazo, Mu bizinga wala nnyo, Ne mu bibira; Mu musana n'empewo, Munaalanga-amatendo. 4 Ensi zonna ziyimbe Yesu Kabaka. Wonna wonna wabune, Ettutumu lye: Tumusinze ye yekka Ow'emirembe gyonna.