Return to Index

38

39

MU kujaguza okungi

40
SongInstrumental
	

1 MU kujaguza okungi Muyimbe n'essanyu lingi; Yesu ssanyu lyaffe Ali mu kisibo, Yenna amasamasa Ku mubiri gwa nnyina, Yesu okusooka, N'enkomerero. 2 Ayi Yesu, Omwana omuto Ggwe gwe neegomba bulijjo Nsaasira siraba, -Omwana asinga bonna; Ku lw'obulungi bwonna, Ggwe ow'ekitiibwa; Nsembeza gy'oli, Nsembeza gyoli. 3 Obulungi bwa Kitaffe! Ekisa ky'Omwana Yesu; Ffe endiga twakyama; -Olw'ebibi byaffe byonna; Naye fenna watuwa -Essanyu ery'omu ggulu. Singa gye tuli, Singa gye tuli. 4 Essunyu liri ludda wa Oba nga teriri eyo? Bamalayika be Bayimba ennyimba empya N'eng'oma nga zivuga; Mu maaso ga Kabaka. Singa gye tuli, Singa gye tuli.