Return to Index

39

40

MU kibuga kya Dawudi

41
SongInstrumental
	

1 MU kibuga kya Dawudi Eky'e Beesirekemu, Omwazaalirwa Omwana, Mu kiraalo eky'ente; Omwana-oyo ye Yesu; Nnyina ye Maliyamu 2 Ye yakka mu nsi ku lwaffe, Ye Mukama wa byonna; Yabeeranga n'abakopi, Mu kyalo-ekinyoomebwa; Yakwananga-abanaku, N'asembezanga-ababi 3 Yesu mu buto bwe bwonna, Yalinga muwombeefu; Yayagalanga nnyo nnyina, Ne bakulu be bonna; N'abaana bonna mu nsi Bakolenga bwe batyo 4 Edda tulirabagana, Olw'okwagala-okungi, Kubanga Omwana oyo, Ye Mukama wa byonna, Alituusa-abaana be Mu ggulu,babe naye. 5 Tetukyamulaba nate Mu kiraalo eky'ente; Tulimulaba mu ggulu, Ng'atudde ne Katonda. Naffe tulibeera-eyo, Nga tumutendereza.