Return to Index

40

41

OMWANA yazaalibwa

42
SongInstrumental
	

1 OMWANA yazaalibwa, Ku lwaffe mu nsi muno, Mu kibuga kya Dawudi Eyasuubizibwa-edda. Lunaku nga lukulu! Yesu lwe yajjirako; Kitegeezebwe wonna, Yesu bwe yazaalibwa. 2 Abasumba baalaba Malayika ekiro, N'agamba nti Temutya, Mbaleetedde-eby'essanyu. Lunaku nga lukulu! Yesu lwe yajjirako; Kitegeezebwe wonna, Yesu bwe yazaalibwa. 3 Kristo Omulokozi Eyatonda-ensi zonna, Olwa leero-azaaliddwa Mu kiraalo eky'ente. Lunaku nga lukulu! Yesu lwe yajjirako; Kitegeezebwe wonna, Yesu bwe yazaalibwa. 4 Omwana-Omutukuvu, Ffe leero tuzze gy'oli; Tukweyanza-ennyo nnyini, Olw'ekisa kyo-ekingi Lunaku nga lukulu! Yesu lwe yajjirako; Kitegeezebwe wonna, Yesu bwe yazaalibwa.