Return to Index

41

42

LEERO bamalayika

43
SongInstrumental
	

1 LEERO bamalayika Bayimbira Kabaka, Azaaliddwa gye tuli, Laba bwe yeetoowaza; Ye afuuse omuntu, Okutugulumiza, Mujje ab'ensi zonna, Okumutendereza. Leero bamalayika, Bayimbira Kabaka 2 Ffe tujje tumusuute, Emanuweri waffe, Omwana w'omuwala Yesu Omulokozi! Azze-omusana gw'ensi -Okutumulisa fenna Tuleme-okutambula Mu nzikiza y'ekibi. Leero bamalayika, Bayimbira Kabaka 3 Kristo wa lubeerera, Mukama-ow'ekitiibwa Ye Kabaka yennyini Azze-okubeera naffe; Azze mu buwombeefu, Mu ngeri ey'obuddu -Okutufiirira fenna, Tuleme okubula, Leero bamalayika, Bayimbira Kabaka