Return to Index

42

43

MU biro-eby'empewo

44
SongInstrumental
	

1 MU biro-eby'empewo E Beesirekemu; Muwala omulongoofu Yazaala-Omwana we. 2 Musanyuke mwenna Muyimbe-ettendo lye; Mujaguze, mujaguze, Yesu azaaliddwa. 3 Yesu azaaliddwa, Mu kisa kye-ekingi Eggye erya bamalayika Batendereza nnyo. 4 Abasumba bazze -Okusinza Omwana-oyo; Abalaguzi batona, Mugavu ne zaabu. 5 Ne bamalayika Baase-okulamusa Omwana-oyo mu kisibo Ye Mukama waffe. 6 Azze-okununula, -Okuba -Omulokozi; Azze- okuwangula-okufa, Tasingika maanyi. 7 Azze n'okwagala, -Okuleeta-omukisa; Eri abantu be bonna, Atuyigirize. 8 Oli mu kiraalo Ggwe-eyava mu ggulu, Amaggwa galifumita Ekyenyi kyo, Yesu. 9 Naye ggwe-otwagaza, -Ebigambo by'obulamu; Era-otuyinzisa fenna -Okukugoberera 10 Ka tumuweereze Nga bamalayika; Kale tusanyuke fenna Azaaliddwa leero