1 MMWE-abantu mu mumuwulire
Amalooboozi muyimuse,
Ensana muziwuube nnyo,
Ozaana waggulu mu ggulu!
2 Awo-Yesu bwe yasembera,
Okumpi ne Yerusaalemi,
N'atuma-abayigirizwa;
Ozaana waggulu mu ggulu!
3 N'agamba ntiMugendo nno
Babiri okuyingira
Mu kyalo kiri mu maaso
Ozaana waggulu mu ggulu!
4 -Amangu ago,eneerabika;
Endogoyi ng'esibiddwa;
Kale mugisumulule
Ozaana waggulu mu ggulu!
5 Bagenda-okugoberera
Endogoyi-era n'akaana,
Yesu ne bamutuuzaako,
Ozaana waggulu mu ggulu!
6 Awo Yesu bwe yayingira
Mu kibuga-ekitukuvu,
Abantu baayogerera
Ozaana waggulu mu ggulu!
7 -Omwala wa Yerusalemi,
Ng'edda bwe kyawandiikibwa,
Leero Kabaka wo ajja
Ozaana waggulu mu ggulu!