1 Mu nzikiza ekutte nkukaabidde
Era,ayi,Mukama,onoowulira;
Kale,amatu go galowooze nnyo
Eddoboozi lyange.
2 Bw'onobalanga ng'omulamuzi
Ebitali bya butuukirivu,
Omuntu-aliyimirira-ali wa
Mukama wange?
3 Naye-onoosonyiwanga abantu bo
Bwe ntyo nnindirira Mulokozi
Era-emmeeme yange-ekwesiga
-Eyaayaanira ggwe.
4 Ggwe,Isiraeri,Suubiranga ye
Awali ye wali-okusaasira;
Era anaanunulanga bantu be
Mu nnaku zaabwe.