Return to Index

401

402

MUNNAFFE oyo awumudde

403
SongInstrumental
	

1 MUNNAFFE oyo awumudde Avudde mu nsi ey'ennaku Agenze mu nsi ey'essanyu Atulese ffe-eno mu nnaku. Weraba,weraba, owummule/emirembe owummule ggwe n'emirembe. 2 Munnaffe oyo awumudde Asomose-omugga gw'ensi Atuuse-emitala weeri Ye annyuse ku mulimu ggwe Weraba,weraba, owummule/emirembe owummule ggwe n'emirembe. 3 Kristo ye yafa n'azuukira Tulizuukira-era naffe Fenna abeesigwa be Tulina essubi-eryo bulijjo. Weraba,weraba, owummule/emirembe owummule ggwe n'emirembe. 4 Ffe abasigaddewo ku nsi Twerongoose mu bulamu Katonda bw'alituyita Tugende gy'ali mu kitiibwa Weraba,weraba, owummule/emirembe owummule ggwe n'emirembe. 5 Ka tuyimbenga nnyo bulijjo Anti-okukkiriza kwaffe Abo-abafiira mu Kristo Babeera nga balamu gy'ali. Weraba,weraba, owummule/emirembe owummule ggwe n'emirembe.