Return to Index

407

408

ENO mbaga ya ttendo era

409
SongInstrumental
	

1 ENO mbaga ya ttendo,era nga ya Yesu; Buli-omu yenna w'ali,kale-ajje ku mbaga; Mujje gye ndi-abakooye,Nze nnaabawummuza; Bw'atyo bwe yatugamba,ne leeero Ayita: Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga; Yesu Y'afumbye leero,mujje mulye na Ye: Mulye,munywe bulungi, Mutwale ku mmere eteggwaawo. 2 Laba,Yesu-ayita mmwe mubeewo ku mbaga; Munaawona ennyonta,mukyame ku mbaga; Emyoyo egikooye anaagiwummuza; Kale mujje-eri Yesu nammwe mweyanjule: Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga; Yesu Y'afumbye leero,mujje mulye na Ye: Mulye,munywe bulungi, Mutwale ku mmere eteggwaawo. 3 Nammwe muleete bangi babeewo ku mbaga; Baweebwe ku mmwere-eno,babeere mu ssanyu; Mujje so temulwawo,olwa leero mbaga; Mutambule bulungi,muyimbe n'essanyu: Mujje ku mbaga.-mwenna ku mbaga; Yesu Y'afumbye leero,mujje mulye na Ye: Mulye,munywe bulungi, Mutwale ku mmere eteggwaawo.