1 AMAKA ga kitiibwa mu kkanisa yaffe;
Okusinga eri omwami n'omukyala;
Be yegatta Mukama okubeera-awamu
Mu ssanyu wamu n'abaana baabwe.
Abo be babiri abaakola endangano
Mu kkanisa ne bagattibwa mu lwatu;
Babeerenga wamu okutuusa-okufa;
Ago ge maka amutukuvu.
2 Amaka amalungi kya bugagga mu nsi;
Gwe musingi omunywevu og'eggwanga;
Omukyala n'omwami we nga baagalana,
Olwo nno nga n'abaana balaba.
Abo Abo be babiri abaakola endangano
Mu kkanisa ne bagattibwa mu lwatu;
Babeerenga wamu okutuusa-okufa;
Ago ge maka amutukuvu.
be babiri abaakola endangano
Mu kkanisa ne bagattibwa mu lwatu;
Babeerenga wamu okutuusa-okufa;
Ago ge maka amutukuvu.
3 Mu maka okusinza kye kimu n'okulya;
Abakulu n'abaana basinza Yesu;
Ku makya, mu kulya-emmere era n'ekiro
Basaba era beenenya-ebibi.
Abo be babiri abaakola endangano
Mu kkanisa ne bagattibwa mu lwatu;
Babeerenga wamu okutuusa-okufa;
Ago ge maka amutukuvu.
4 Amaka gaffe tegayinza kweyagaza,
Endagaano zaffe bwe tutazikuuma;
Omukyala oba-omwami bwe tutazikuuma;
Okukuuma munne mu bwesigwa.
Abo be babiri abaakola endangano
Mu kkanisa ne bagattibwa mu lwatu;
Babeerenga wamu okutuusa-okufa;
Ago ge maka amutukuvu.
5 Mmwe abaami kirungi muleke-okusobya,
Okufuna abakazi mu bukyamu;
Era nammwe-abakazi mumanye nti kibi
Okufumba nga tewagattibwa.
Abo be babiri abaakola endangano
Mu kkanisa ne bagattibwa mu lwatu;
Babeerenga wamu okutuusa-okufa;
Ago ge maka amutukuvu.