Return to Index

55

56

EKISEERA kye kituuse

57
SongInstrumental
	

1 EKISEERA kye kituuse -Ab'omu ggulu weebali; Bonna batendereza nnyo Nga bayimba bwe bati: Ekitiibwa kibe eri Katonda 2 Abasumba bwe baalaba Bamalayika bali Nga bayimba oluyimba -Olwali -olw'okujaguza: Ekitiibwa kibe eri Katonda 3 Mu kiraalo bwe baagenda Baamulaba omuto; Bakkiriza nga ye Kristo, Baamufukaamirira: Ekitiibwa kibe eri Katonda 4 Naffe olw'okwagala kwe Leero ka tuyimbe nnyo, Tumutendereze -Omwana Eyazaalibwa mu nsi: Ekitiibwa kibe eri Katonda