Return to Index

412

1

TUZUUKUKE tuzuukuke

2
SongInstrumental
	

1 TUZUUKUKE,tuzuukuke, Emirimu tugikole; Tuve mu tulo,tweweeyo Ssaddaaka ez'okumwebaza. 2 Tufube nga twerowooza Mpozzi-olwa leero okufa, Tukulire mu mpisa ze, Tusuubire okujja kwe. 3 Tubeerenga ba mazima, Bukuusa bwonna buggweewo; Katonda-amanyi-eby'omunda, N'ebirowoozo-abyekkaanya. 4 Twakenga ng'omusana gwe; Amulisa-ekkubo lyaffe, Nga bw'atuwa-ebyaffe byonna, Tumuwe-okwagala kwaffe. 5 Tuzuukuke,tumwebaze; Awamu n'ababe bonna; Abayimba-amatendo ge, Mu ggulu ne mu nsi zonna. 6 Tuzuukuse,tuzuukuse, Otujjuze Omwoyo wo, Otuwe obunyiikivu, Tuweerezanga Katonda.