Return to Index

411

412

MUJJE mwenna-abalonde muyimbe nnyo leero

1
SongInstrumental
	

1 MUJJE mwenna-abalonde,muyimbe nnyo leero Mujje tusinze Yesu eyatulokola; Mumwebaze yekka,Omulokozi w'ensi; Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi: Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n'eddoboozi;(ggwe) Tendereza Yesu,Omulokozi wange; Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n'eddoboozi;(ggwe) Osanyukenga bulijjo olw'obulokozi. 2 Abantu be,mujje n'emyoyo-emiwombeefu, Nga mwebaza byonna n'ennyimba ez'ettendo; Fenna ka tweweeyo,tumusinze ye yekka, Kubanga ye Yesu,Omulokozi waffe. Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi: Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n'eddoboozi;(ggwe) Tendereza Yesu,Omulokozi wange; Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n'eddoboozi;(ggwe) Osanyukenga bulijjo olw'obulokozi. 3 Ka twebaze-oluyimba lwa bamalayika: Nga bamulanga Yesu nti Azze gye tuli; Twegatte mu kuyimba ku nsi wamu nabo, Nga tuli ne Yesu,Omulokozi. Eyajja gye tuli mu kisa kye ekingi: Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n'eddoboozi;(ggwe) Tendereza Yesu,Omulokozi wange; Yimba ggwe mwoyo gwange, Yimba nnyo n'eddoboozi;(ggwe) Osanyukenga bulijjo olw'obulokozi.