Return to Index

410

411

MU nsi-engimu-eyajjula-eby'obugagga

412
SongInstrumental
	

1 MU nsi-engimu-eyajjula-eby'obugagga, Katonda y'akuuma-abaana be; Emigga gy'amazzi egy'obuwangwa Gye gibanywesa-abantu be. Entiisa bw'ejja,ab(a) entalo, Abantu bafa n'obwavu n'enjala; Emmund(u) ez'amaanyi nga zivuga; Kyokka Mukama ng'al(i) awo naffe. 2 Mu ddundiro-eddungi ery'obuwangwa, Katonda y'alunda-abaana be; Era-ekiro twebaka mu kiwonvu; Era Katonda y'akuuma. Entiisa bw'ejja,ab(a) entalo, Abantu bafa n'obwavu n'enjala; Emmund(u) ez'amaanyi nga zivuga; Kyokka Mukama ng'al(i) awo naffe. 3 Wadde ebibi bingi ebitulumba, Katonda y'akuuma abaana be; Amaanyi ge n'ekisa bitukuumye; Katonda ye Mulokozi. Entiisa bw'ejja,ab(a) entalo, Abantu bafa n'obwavu n'enjala; Emmund(u) ez'amaanyi nga zivuga; Kyokka Mukama ng'al(i) awo naffe. 4 Fenna tuyimbe,tusuute Kitaffe; Katonda akuumye abaana be; Nga tumanyi tuligenda eyo gy'ali Katonda ng'atwala abaana. Entiisa bw'ejja,ab(a) entalo, Abantu bafa n'obwavu n'enjala; Emmund(u) ez'amaanyi nga zivuga; Kyokka Mukama ng'al(i) awo naffe.