Return to Index

1

2

YESU Mukama w'eggulu

3
SongInstrumental
	

1 YESU Mukama w'eggulu, Ggwe kitiibwa kya Kitaffe, Ggwe musana gw'emirembe, Ogumalawo-enzikiza. 2 Jjangu Njuba y'omu ggulu, Tumulise n'ekisa kyo; Omwoyo wo-Omutukuvu, Atuule mu myoyo gyaffe. 3 Nyweza-okukkiriza mu ffe, Ofuge-emibiri gyaffe, Tuwe-emirembe n'essanyu, Bukuusa bwonna buggweewo. 4 Otukuze-essanyu lyange, Mu lunaku lwaffe luno; Tuwe fenna-okukwebaza Obudde nga buwungedde. 5 Tukusaba kino kyokka, Otuwe-okukujjukira; Buli nkya na buli kiro, Tukusuute Mulokozi.