Return to Index

2

3

NGA bwe bukedde-olwa leero

4
SongInstrumental
	

1 NGA bwe bukedde-olwa leero, Bwe tuyimusa bwe tutyo; -Emitima gyaffe,tusaba, Otukuume olwa leero. 2 Tuyambe-obutayogera, Bya kuyombagana byonna; Kuuma,wunjula-amaaso go; Okulaba-ebitasaana. 3 Kka,emyoyo gyaffe gibe, Mirongoofu nnyo mu byonna; -Emibiri gyaffe-eminafu, Biweebwe-emmere y'obulamu. 4 Bye tukoze byonna leero, Bitendereze Katonda, -Ekiro ne bwe kinaatuuka Tetuutye entiisa yonna. 5 Otenderezebwenga nnyo; Ggwe Kitaffe-era n'Omwana, Naawe Omwoyo-Omutukuvu; Ggwe-afuga-emirembe gyonna.