Return to Index

3

4

MUKAMA waffe bulijjo

5
SongInstrumental
	

1 MUKAMA waffe bulijjo, Mu linnya lyo tutanule, Tukole-emirimu gyaffe; Twagala n'okumanya ggwe. 2 Tukolenga by'oyagala, Tubeerenga mu maaso go, Tulabe n'omukisa gwo, Era tukusanyukire. 3 Amaaso go gatulaba: Mukama otuzibire, Tukuwe n'emyoyo gyaffe, Tukole by'otulagira. 4 Era tubeere-abaddu bo, Tutunule,tusabe nnyo, Tukwatenga-amateeka go, Tuwulire-ebigambo byo. 5 Kyonna kyonna kye tulina, Yesu,kikyo so si kyaffe, Tubeere naawe bulijjo, Tutambule mu kkubo lyo