1 JJANGU gye ndi bwe nzuukuka,
Obudde nga busaasaanye,
Osige mu mwoyo gwange,
Ebirowoozo-ebisaana.
2 Jjangu gye ndi mu ggandaalo,
Eby'ensi ebitaliimu,
Bireme-okusiikiriza,
-Omusana ogw'amaaso go.
3 Akawungeezi-ojje gye ndi
Era bwe mba nkuvuddeko,
Onkomywewo,onzibire;
Mu nkwe zonna-eza Ssetaani.
4 Era mu ttumbi-ojje gye ndi,
Bwe neebaka-amavumira,
Nneme-okutya-akabi konna;
Nga nkuumibwa-Omulokozi.
5 Beeranga nange mu bulamu-
Beeranga nange mu kufa,
Ompitanga-okujja gy'oli,
Nsanyukire mu maaso go.