Return to Index

5

6

ENKYA bw'onoozuukukanga

7
SongInstrumental
	

1 ENKYA bw'onoozuukukanga, Nga tosoose mirimu, Sooka-osome mu kitabo Yesu kye yawandiisa, N'ofukamira mu maaso Ga Katonda-Omulamu-, Anaakuwanga-omukisa, Bwomubuulira byonna. 2 Oba ssanyu,oba nnaku Bwe bijja gy'oli leero; Tebiireme kukusanga Nga weeteeseteese nnyo. Totya maayi ga mulabe, Ssetaani muwangule, Onoomukubanga-enfuka; Bw'onokkiriza Yesu. 3 Ebigambo bya Katonda Bikuliisa-omwoyo gwo, Nga bw'obyekkaanya-era bw'otyo Bw'olaba-emirembe gye. Mu kusaba mw'onooweerwa, Amagezi n'amaanyi; Okugoba abalabe Bwe bakulumba-obubi. 4 Obukoowu n'obunafu, Era n'obuyinike, N'emitego gya Ssetani Onoosobola byonna. Saba Yesu-okukubeera Buli lw'olaba-ennaku; Bw'otyo bw'onoofuna-amaanyi, Bw'omubuulira byonna.