Return to Index

100

101

YESU ng'addayo gye yava

102
SongInstrumental
	

1 YESU ng'addayo gye yava Mu buwanguzi-obungi Mumulabe ye Kabaka Afuga bakabaka. Bamalayika be bomma Bakuba nnyo ennanga, Eggye lyonna ery'omu ggulu Baaniriza Kabaka. 2 Ani ajja mu kitiibwa N'obuwanguzi-obungi? Oyo-ow'amaanyi mu ntalo Awangudde-omulabe. Bwe yafa ku musaalaba Era n'ava mu ntaana, N'aweebwa-erinnya-erisinga Bonna bamusinzenga 3 Atuzuukizizza naffe, Tufuge wamu naye Eyo mu kitiibwa-ekingi Ne bamalayika be: Omulokozi afuga Katonda-era omuntu Erinnya lye wa kitalo Katonda ataggwaawo. 4 Ekitiibwa-eri Kitaffe, N'eri-Omwana we Yesu; N'eri-Omwoyo-Omutukuvu Era-omu mu Busatu; Ekitiibwa kibe gy'ali, Ensi zimuyimbire; Ettendo libe mu ggulu, -Era n'emirembe ku nsi