10 |
11KABAKA wange nsanyuka |
12 |
Song | Instrumental |
1 KABAKA wange nsanyuka Okwebaza-ekitiibwa kyo, Enkya okusuuta-erinnya lyo, n'okulinyumyako-ekiro. 2 Lunaku lwo lutukuvu Lwa kitiibwa, lwa ssanyu nnyo: Muyimbe mwenna amawanga, N'essanyu lingi n'okutya. 3 Bakozi b'obubi bonna Bajja kusaasaanyizibwa Baloka mangu ng'omuddo, Naye balizikirira. 4 Batukuvu ba Mukama Banywera nnyo ng'omuvule, Kibuyaga tamenya bo, Baweereddwa-okubeerawo.