Return to Index

11

12

ENJUBA y'omoyo gwange

13
SongInstrumental
	

1 ENJUBA y'omoyo gwange, -Omulokozi gwe njagala; Bw'abanga-anjakira-,obudde Tebujja kunzibirira. 2 Emitawaana egy'ensi Gireme-okusiikiriza Omusana gw'amaaso go, Ne siyinza kukulaba. 3 Bwe ngenda-okwebaka-ekiro Onteeke mu mikono gyo, Onkuume mu kabi konna, Oneebase mu mirembe. 4 Enkya,mu ttuntu, n'ekiro, Era ne me bifo byonna, Ggwe-ayagala abaana bo, Beeranga nange,tondeka. 5 Oba nga-omu gwe watonda Anyoomye-ekisa kyo leero Kaakano-omutaase oyo, Mu buyinza-obw'omulabe. 6 Ojjanjabe-abalumwa-ennyo, N'abatayinza kwebaka, Obawonye-endwadde zaabwe; Obaggyeko-obubi bwonna. 7 Era bwe tunaazuukuka Ojje otuwe-ekisa kyo; Nga tetunnaba kukola Emirimu-egya bulijjo