114 |
115OMUSUMBA-omulungi |
116 |
Song | Instrumental |
1 OMUSUMBA-omulungi Kuuma-endiga zo zonna; Mpaawo-alizisikula -Okuva mu mikono gyo. 2 Bulijjo twewombeeke Okukugoberera, Ng'abo abaatusooka, Tukuumibwe-okwagala. 3 Bulijjo beera kumpi Tuyige-eddoboozi lyo; Tuleme-okukyamanga Nga tuva mu kkubo lyo. 4 Yonna gy'onootutwala, Tukugobererenga, Okutuuka mu ggulu Tufuge wamu naawe