Return to Index

115

116

YESU naawe wali

117
SongInstrumental
	

1 YESU naawe wali Omuto ngaffe, So tewali muto Gw'otoyagadde; Naffe twakusenga Ku Bbatirizo, Otujjukizenga Endagaano eyo. 2 Mu kiseera ekyo Baatuyingiza Munda mu kisibo Eky'Ekkanisa. Bwe tuneesiganga Ebigambo byo, Onootukwatanga Mu mikono gyo. 3 Tetukyakulaba Yesu,n'amaaso, Naye tukusaba Otukuume nnyo. Edda tulituuka Mu ggulu gy'oli, Okufa kufuuka Otulo w'oli 4 Ennyonta n'enjala Tebiriruma Ndiga zo z'otwala Ggwe-olizikuuma. Okufa ku bwaffe Wakuwangula, Amaziga gaffe N'ogasangula. 5 Ayi Musumba waffe Obulamu bwo Wabuwa ku lwaffe Abagule bo. Otujjukizenga Emikisa gyo, Ka tukwesigenga Wonna,bulijjo.