Return to Index
116 |
117
TUSANYUSE-okujja mu maaso go
|
118 |
Song | Instrumental |
|
|
1 TUSANYUSE-okujja mu maaso go,
Tusuubiza leero mu maaso go;
Tubeere-abaana bo-ennaku zonna,
Okukuweereza n'obwesigwa.
2 Naye tumanyidde ddala kino
Nti tetuyinza awatali ggwe;
Naye ggwe watusuubiza kino
Okubeeranga naffe bulijjo.
3 Tumanyi nti ggwe oli mwesigwa,
Toyinza kutuleka mu kkubo;
Kale-essubi eryo litugumye
Liryoke litutuuse mu ggulu.
4 Otuyise okukuweereza
Tuwaayo-obulamu bwaffe bwonna;
Tukuweereze nga bw'osaanira
Olyoke-oweebwe-ekitiibwa mu nsi