Return to Index

117

118

TWALA-obulamu bwange

119
SongInstrumental
	

1 TWALA-obulamu bwange Obufugire ddala, Ebiro bye ndimala Bibe bya kukusinza. 2 Twala-emikono gyange Okukuweerezanga; Twala-ebigere byangge Ntambulirenga mu ggwe. 3 Twala-eddoboozi lyange Nkutendereze Yesu; Twala n'emimwa gyange Gibuulirenga-Enjiri. 4 Twala ne bye ndowooza, Ndowoozenga by'osiima; Twala-omutima gwange Bulijjo-ogukuumenga 5 Twala bye nnina byonna, Byonna bibyo si byange; Twala-amagezi gange Gakozese by'osiima. 6 Twala-okwagala kwange, Ntwala nzenna nga bwe ndi; Yesu-ontwalire ddala, -Emirembe ne'mirembe