Return to Index
119 |
120
KATONDA wange nkuwadde
|
121 |
Song | Instrumental |
|
|
1 KATONDA wange nkuwadde
-Omwoyo gwange gwonna;
Nnemenga okukuvaako
emirembe gyonna.
2 Neesudde ku bigere byo,
Ggwe-eyakomererwa:
Komerera-ebibi byange,
Nkuweereze wekka.
3 Olw'ekisa kyo-ontukuze ,
Onfuule owuwo,
Ndyoke ndabe amaaso go
Nkutenderezenga.
4 Nkuwadde byonna bye nkola
N'ebyo bye ndowooza,
Nkuweereze mu bulamu,
Mu kufa nbe naawe.
5 Eddungu weeriri,
Lye mpitamu,naye
Ka nnyanguwe gy'oli
Ennyonta yange-eggwe.