1 ALIJJA:essubi eryo
Lye litugumya-emyoyo
Ekiseera kitono
Okutuusa lw'alidda;
Naffe tulijaguza
Fenna Yesu bw'alijja.
2 Be twayagalanga ffe
Bwe baba nga beebase
Ne tweraliikirira
Ne tubeera mu nnaku;
Ka tuleke-okukaaba;
Tuliwona,bw'alijja.
3 Bwe tulaba ennaku,
Tetunyiiga n'akamu;
Okufiirwa bannaffe
N'ennaku ze tulaba;
Tubigumiikirize,
Okutuusa lw'alijja.
4 Ka tulye ku mbaga ye
Ey'enviinyo n'emmere;
Bino bye bijjukizo,
Okutuusa ku biro
Lw'alituliisa fenna
Be yayita, bw'alijja.