Return to Index

121

122

ENJALA n'ennyonta

123
SongInstrumental
	

1 ENJALA n'ennyonta Binnuma-:ompeereze Amazzi g'obulamu- N'emmere-eva gy'oli. 2 Ggwe-eyabetentebwa, Ku bwange,Mukama; -Omugaati gw'obulamu Gumpe, nneme-okufa. 3 Ggwe,Ayi Muzabibbu Oguleeta-obulamu Onnywese-enviinyo yo, Envumule-omwoyo, 4 Nkooye n'okukoowa, -Olugemdo lunnyinze; -Ondiise ku mmere yo, -Ombeere,Mulokozi. 5 Eddungu weeriri, Lye mpitamu,naye Ka nnyanguwe gy'oli Ennyonta yange-eggwe.