1 GGWE-akamwa kange,tendanga
Omubiri gwa Yesu
N'omusaayi-gwe-eby'omuwendo
Ebiva mu Kabaka
Eyazaalibwa Malyamu,
Ye Mununuzi w'ensi.
2 Bw'atyo ffe bwe yatuweebwa
Okuzaalibwa mu nsi;
Yagumiikiriza-ennaku
Anyweze-obubaka bwe;
Yabonyaabonyezebwa nnyo
Okutuusa ku kufa.
3 Ekiro-eky'enkomerero
Ng'ali mu batume be,
Yesu yabakuutira nnyo,
Bakwatega-ey'obulamu
Ye gye yawa n'engalo ze
Emmere y'omuwendo mungi.
4 Kigambo yafuuka-emmere,
Eriissa-abantu bonna;
Omusaayi gwe ye nviinyo
Ebireeta-obulamu:
Bwe tubikkiriza ebyo,
Tumanya-okwagala kwe.
5 Kale ka tutende Yesu,
Ku lw'embaga ye eno;
Mu kifo ky'ebibi-eby'ensi
Tufune-eby'omu ggulu;
-Essubi lyaffe libeerenga
Mu y…