Return to Index

131

132

EKITIIBWA kibe waggulu

133
SongInstrumental
	

1 -EKITIIBWA kibe waggulu N'eri Katonda waffe N'emirembe gibe mu nsi -Ekisa kibe mu bantu Tukusinza, tukusuuta Ggwe Ayi Mukama Katonda, Kitaffe-Ayinza-byonna 2 Ggwe Ayi Mukama Omwana -Eyazaalibwa-omu yekka; Ggwe Ayi Mukama Katonda, -Omwana gw'endiga Yesu; Aggyawo ebibi by'ensi, -Otusaasire,Ayi Yesu. 3 Ggwe aggyawo ebibi by'ensi, Tusaasire,Ayi Yesu; Ggwe-aggyawo ebibi by'ensi Kkiriza bye tusaba. Ggwe attudde ku mukono Ogwa ddyo ogwa Katonda, -Otusaasire,Ayi Yesu. 4 Ggwe wekka ggwe Mutukuvu, Ggwe wekka,Ayi Mukama. Ggwe wekka,Ayi Yesu Kristo, N'Omwoyo-Omutukuvu. Oli waggulu nnyo nnyini Mu kitiibwa kyo ekingi; -Ekya Kitaffe.Amiina.