1 TUZZE gy'oli,Ayi Katonda,
Katonda ow'okwagala;
Nga tubasabira bano
Obagatte wamu.
2 Bwe baba nga basanyuka
Olugendo nga lulungi,
Bakwesigenga ggwe wekka,
Mu ggwe babenga-omu.
3 Ne mu biro eb'ennaku,
Omuyaga bga gukunta;
Era bakwesigenga ggwe,
Obeerenga nabo.
4 Byonna ebiribajjira
Oba ssanyu oba nnaku,
Obawenga ekisa kyo
Obeerenga nabo.
5 Mu ndwadde ne mu bulamu,
Mu bwavu ne mu bugagga;
Okwagala kwo okungi
Kubeetooloolenga.