Return to Index

13

14

KAAKANO buli kinyu

15
SongInstrumental
	

1 KAAKANO buli kinyu, Ensolo n'ebimuli, N'abantu byebaka: Otulo tubikutte, Naye ggwe mwoyo gwange, Ofumiitirize bino. 2 Eggulu litangaala Obudde nga buzibye, -Emmunyeenye ne zaaka; Katonda bw'alimpita, Ndigenda mangu gy'ali Ne ndeka obuyinike. 3 Bitundu byaffe byonna Byesiima-okuwummula -Emirimu giwedde; Bwe gutyo-omwoyo gwange Edda bwe guliteebwa Gulijjula emirembe. 4 Bwe twebaka,amaaso Gabeera nga gazibye, Nga tetuwulira; Naye Yesu akuuma Bonna abamwesiga, N'abo-abeebakira mu ye.