Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
1 OBUDDE buzibye
Enjuba-egenze
Enzikiza-ekwata
Mu bbanga ly'ensi.
2 Buli nsolo yonna,
Era n'ennyonyi,
Byonna biwummula
Byebaka-otulo.
3 Ayi Mukama waffe,
Ontunuulire,
Kaakano nkusaba,
Ompe-ekisa kyo.
4 Ebyonoono byange,
Binkwasa-ensonyi;
Naye-olw'ekisa kyo,
Tongoba w'oli.
5 Bwe neebaka-otulo,
Mu kiro kino;
Bamalayika bo
Bajje bankuume.
6 Ate bwe bunaakya,
Nga ngolokose,
Mbeere mu maaso go
Omulongoofu.
7 Nsabira-abalwadde,
Ne bannamwandu;
Obawe-omutima
Ogukwesiga.
8 Oweebwe-ekitiibwa
Gwe-eyatonda-ensi;
Ogulumizibwe,
Gwe-eyazuukira.