Return to Index
15 |
16
GUWEDDEWO-omusana;
|
17 |
Song | Instrumental |
|
|
1 GUWEDDEWO-omusana;
Yesu tweyanza ggwe;
Ekiro tukusaba
Tuleke ebibi;
Mu budde obw'enzikiza,
Ayi Yesu,otukuumenga.
2 Biweddewo kaakano
Bigambo bya leero;
-Omulokozi,tuwonye
Mu maayi g'ekibi.
Mu budde obw'enzikiza,
Ayi Yesu,otukuumenga.
3 Emirimu giwedde;
Tukwegayirira,
-Otuggyeko-akabi konna;
Otuzibirenga.
Mu budde obw'enzikiza,
Ayi Yesu,otukuumenga.
4 Tukuume-emyoyo gyaffe;
Katonda ggwe-omanyi,
Obubi bw'omu kkubo
Ffe lye tuyitamu.
Mu budde obw'enzikiza,
Ayi Yesu otukuumenga.