Return to Index

147

148

MUMUTENDE ye

149
SongInstrumental
	

1 MUMUTENDE ye Mmwe eb'omu bbanga Ne bakkerubi -Olw'obutonzi bwe. Mmwe-eggulu musuute Eyabatonda; Mumuvuunamire Mu bukulu bwe. 2 Mumutende ye Mmwe ab'oku nsi, Mukube-ennanga Mmwe abalonde be. Mumutende-olwa byonna Eby'ekisa kye; Musuute-eyabawa Okuyimbanga. 3 Mumutende ye Mmwe ebivuga -Eby'engeri zonna -Ez'amaloboozi. Mukube nnyo-ennanga Lw'ekitiibwa kye, Mmwe-ebitaasa mwenna Mumuwe-ettendo. 4 Mumutende ye Era mwebaze, Mu biro byonna Mumusuutenga; Eyatwagala-ennyo N'atununula Atenderezebwe -Emirenbe gyonna