1 OKWOLESEBWA kulungi,
Nabbi kwe yalaba-edda;
Maloboozi ga kitalo
Olwo ge yawulira.
2 Mu yeekaalu ya Katonda,
Ng'atudde ku ntebe ye;
Bakkeerubi,Basseraafi;
Bayimba-Antifoona-eno:
3 Ekitiibwa kyo kinene,
Mu nsi-era ne mu ggulu;
Oweebwe-ekitiibwa kyonna,
Mukama Mutukuvu.
4 Mu ggulu bakyamusuuta,
Ne mu nsi ne baddamu
Nga bayimba:Mutukuvu
Mukama-ow'eggye lyonna.
5 Wamu ne Bamalayika,
Wamu n'Ekkanisa ye,
Naffe tumutendereze,
Naffe tumuyimbire.
6 Ekitiibwa kyo kinene,
Mu nsi-era ne mu ggulu;
Oweebwe-ekitiibwa kyonna,
Mukama Mutukuvu.