149 |
150TUKWEYANZA Kitaffe |
151 |
Song | Instrumental |
1 TUKWEYANZA Kitaffe Ggwe-atukumye-olw'ekisa Mu budde-obw'emisana, Ne mu mirimu gyaffe; Tukuume,Ayi Mutonzi, Mu nzikiza ya leero. 2 Tukusinza ggwe wekka, Nga tusuuta-erinnya lyo; Emikisa gyo-emingi, Gy'otuwa mu kisa kyo. Ffe abatasaanira; Kyetuva tweyanza-ennyo. 3 Naye-okusinga byonna Tweyanza-okwagala kwo, Olw'Omwana wo Yesu, Eyafiira ku muti, Ku lwaffe aboonoonyi; Tweyanza nnyo Kitaffe!