MUJJE mwebaze Mukama,
Mwenna be yalokola;
Mwolese-ekitiibwa ky'oyo
Eyatonda ffe fenna.
Okuva-edda n'edda lyonna
Ye yabeerera yekka.
Ennyanja nga tennabaawo
Newankubadde ensi,
Yesu Mwana wa Katonda
Ye yakkiriza-okufa,
Alyoke-atununule ffe
Mu bibi byaffe byonna.
Kaakano eyo mu ggulu
Atulongoosereza
Ebifo-eby'okubeeramu
Buliio mu maaso ge.
Mu nsi tulina ennaku,
Eri ssanyu jjereere.
Bonna bamutendereza
Mu ggulu-era-ne mu nsi,
Bamalayika n'abantu
Bamugulumiza nnyo.
Katonda wa bakatonda
Kkiriza-ettendo lyaffe.