Return to Index

158

159

MU maaso ga Yesu abalokole

160
SongInstrumental
	

MU maaso ga Yesu abalokole, -Ekibiina-ekinene,bayimiridde; Bayimba nti Eyatunaaza yekka -Aweebwe ekitiibwa ennaku zonna. Kiki-ekyabanaaza-abalina-ebibi? Yesu yatunaaza n'omusaayi bw'ati; Tuyimba nti Eyatunaaza yekka, Aweebwe-ekitiibwa ennaku nzonna. Kyebava bafaanana-abatukuvu; Kyebava bayimba abangi wamu; Ggwe Yesu wekka eyatutukuza, Oweebwe-ekitiibwa ennaku zonna. Bo baali bajeemu,naye kaakano Be baddu ba Yesu-abamuweeereza Bayimba nti Eyatunaaza yekka Aweebwe-ekitiibwa ennaku zonna Yesu,ffe fenna twandifudde bufi; Watwagala ne bwe twali ababi; N'otusaasira ggwe n'otutukuza; Oweebwe-ekitiibwa ennaku zonna. Bannange, n'essanyu tumuyimbire, -Abalala balyoke bayimbe nabo, Ggwe Yesu wekka eyatutukuza, Oweebwe-ekitiibwa ennaku zonna.