Return to Index

159

160

YESU ye yava mu ggulu

161
SongInstrumental
	

YESU ye yava mu ggulu, N'akka-okufiirira-abantu; Era-ekitabp kyogera Bw'asaasira ffe-aboonoonyi. Yatambulanga bulijjo, N'avumulanga-abalwala; Yalongoosanga bangi nnyo, N'azuukizanga abafu. Yabuuliranga bulinjo Enjiri-ey'obulokozi; Era kubanga wa kisa, N'asembezanga abaana. Naye oyo-eyakolanga -Obulungi bwonna-obw'ekisa Yabonyaabonyezebwa nnyo, N'awanikibwa ku muti. Bw'atyo bwe yafa, yafuuka Omuntu n'atufiirira: Ffe tulyoke tusonyiyibwe Ebyonoono byaffe byonna.