Return to Index

162

163

TETWAKULABA bwe wajja

164
SongInstrumental
	

TETWAKULABA bwe wajja N'otambula mu nsi yaffe; So tetwalaba nnyumba yo, Mu kyalo ekinyoomebwa; Naye bwe tubiwulira Tukkirza-era twebaza Tetwakulaba bwe wafa Ku lwaffe ku musaalaba; Era ne bwe wakoowoola, Tetwakuwulira n'omu; Naye bwe tubirowooza Twewuunya nga tukankana. Tetwayimirira n'abo Abaakunoonya mu ntaana, Oba nabo be wasanga Mu kkubo nga batambula; Naye bwe tubiwulira Tweyanza-era tusanyuka. Tetwaliwo bwe walinnya Mu ggulu eri Kitaawo; -Abatume bwe baatunula Nga beekaliriza-amaaso; Naye tumanyira ddala Nti baakulaba ng'ogenda. Era kaakano ng'okufa, Ffe nga tukulindirira; Tetulaba kitiibwa kyo; Okitukwese mu ggulu: Naye tumanyi ng'olijja N'ebire mu kitiibwa kyo.