Return to Index
Song | Instrumental |
|
|
MUJAGUZE nno!
Mmwe-abantu mwenna
Yesu Mulokozi ye yajja gye tuli
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.
Mujaguze nno!
Omusana gwaka,
Ebiro byayita eby'obutamanya.
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.
Mujaguze nno!
Omusaayi-gwayika,
Ogwa Yesu Mukama-ogunaaza-ebibi.
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.
Mujaguze nno!
Atusonyiwa-era,
Omutuukirivu yatufiirira ffe.
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.
Mujaguze nno!
Okufa kufudde,
Yesu ye yakuwangulua n'azuukira.
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.
Mujaguze nno!
Yesu atufuga,
Atufuga fenna-era-atuwolereza.
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.
Mujaguze nno!
Ajja kudda nate,
Ajja kudda nate n'ekitiibwa Yesu.
Mumutende, mumutende oyo eyattibwa
Mumutende,mumutende,eyazuukira.