Return to Index

164

165

ERINNYA lya Yesu ddungi

166
SongInstrumental
	

ERINNYA lya Yesu ddungi Eri akkiriza; Lisangula-amaziga ge, Limalamu-okutya. Litereeza n'omwoyo gwe Linyiga-ebiwundu; Ye mmere y'omuyala-,era Liwumuza-akooye. Erinnya gganzi, lwe lwazi Kwe nzimba-enju yange Lye ggwanika-eritaggwaamu Emirembe gyonna. Musumba wange,nkwebaza, Mulokozi wange; Bulamu bwange,nkwebaza, Era-ekkubo lyange. Okufuba kwange kwonna Tekuliimu maanyi; Naye bwe ndikulabako, Ndikutendereza. Onteegeezenga bulijjo, Ekisa kyo-ekingi Erinnya lyo linsanyuse Mu ntuuko-ez'okufa