Return to Index

165

166

TULINA-Omubeezi waffe

167
SongInstrumental
	

TULINA-Omubeezi waffe Nga-atwagala! Akira baganda baffe Nga-atwagala! Emikwano gyaffe ku nsi Batutamwa,batuvaako: Naye oyo tatukuusa, Nga-atwagala! Buno bwe balamu bwaffe Nga-atwagala! Yesu okumumanyanga Nga-atwagala! Yatunoonya mu likoola N'atununula n'omu-wendo N'atuleeta mu kisibo; Nga-atwagala! Kiki-ekimusanyusa-era, Nga-atwagala! Kwe kutuwa ffe-omukisa Nga-atwagal! Ka tugume-emyoyo gyaffe Ka tutambule n'essanyu Alitutuusa ewuwe, Nga-atwagala! Ku lw'erinnya lye-ery'amaanyi Nga-atwagala! Tuliwangula-abalabe Nga-atwagala! Kale nno tweyongeremga Okuyimba nti Asinze Asinze Mukama waffe; Nga-atwagala!